Ana səhifə

Endagaano ya icpcn ekwaata ku bulamu bwa baana obuli mu buzibu bwokusannyizibwawo


Yüklə 4.35 Kb.
tarix06.05.2016
ölçüsü4.35 Kb.
ENDAGAANO YA ICPCN EKWAATA KU BULAMU BWA BAANA OBULI MU BUZIBU BWOKUSANNYIZIBWAWO .

  1. Buli mwaana yenna asuubirwa okukolwako nga ssekinomu, mu byobuwanggwa n’emyaaka egikwatagana n’endabiririra wamu n’obujjanjabi bwabantu abalina endwadde ezolukonvuba nga bwezogerwaako ekitongole kyebyobulamu ekyensi yonna(WHO). Ebyetaago byennyini ebya baana abavubuka wamu nabato bijja kukolwako wamu nokutegekerwa.

  2. Enzijjanjaba n’endabirira yabantu abalina endwadde ezolukonvuba, eri omwana namaka mwava, ejja kutanddika mu kiseera ng’omwana amaze okukeberebwa nakakkasibwa nti obulwadde abulina, agende mu maaso nga ajjanjabibwa mu kiseera ekyo bulwadde, okutuusa mu kufakwe wamu nemu lumbe. Ekigendererwa kyenkola eno kujja kuba kukendeeza ku kubonabona wamu nokutumbula omutiindo gw’obulamu.

  3. Abazadde bo mwana oba abakuza abannyiddwa be bajja okutwalibwa nga balina okumulabirira era bajja kutwalibwa nga balina obuvunanyizibwa mu kusalawo kubikwatagana no mwaana wabwe.

  4. Buli mwaana ajja kuweebwa omukisa mu kwenyigira mu bisalibwawo ebikwatagana n’endabirira ye okusinziira ku myaaka nentegeera ye.

  5. Enkola ennambulukufu ate nga yabwenkannya yejja okugobererwanga okukuuma empulizigannya wakati w’omwana wamu n’abazadde be ( oba omukuza). Abaana bonna bajja kuweebwa ekitiibwa bayisibwe kyenkannyi awatali kwawulamu wadde nga balina obulemu ku mibiri oba ku bwongo bwabwe.

  6. Buli mwaana wamu naabo abakyakula bajja kufuna omukisa okufuna ebyenjigiriza, era buli lwekinaberanga kisoboka anaweebwa omukisa okuzannya, okwetaba mu bintu ebimuyamba okuwumuza obulamu, okukolagana ne bato banne wamu nemikwano era nokukola ebyo byonna abaana abato abalala bye bafuna omukisa okukola.

  7. Omwaana nabo mu maka mwava bajja kuweebwanga omukisa gw’okulaba omusawo wa baana nga yakuguka mu mbeera (obulwadde) omwana oyo gyabeeramu bwekinabanga kisoboka era ajja kusigala nga alabirirwa omusawo wa baana oyo.

  8. Omwana nabomumaka ge ( abazadde oba amulabirira) bajja kufunirwa omukozi asobola okutukirirwa essawa yonna nga omulimu gwe kuziimba n’okukuuma enkola enesobola okuyamba abantu bano mu ngeri zonna nga byambibwako ebikozesebwa ebisobola okufunibwa mu kitundu mwebali.

  9. Amakka omwana mwabeera gajja kusigala nga mwalabirirwa okujjako nga embeera egaanyi. Okujjanjabira omwana wabweru wa maka gano, kijja kukolebwa mu kifo ekisanyusa abaana nga era kikolwamu abakozi abatendekeddwa mu ndabirira n’enzijjanjaba yabaana abalina obulwadde obwolukonvuba.

  10. Buli mwaana nabuli muntu owomumaka ago omwana mwava ne baganda be, banyina, bajja kufuna okubudabudibwa okuja mu buwangwa bwabwe, obujjanjabi, okuyambibwa mu ngeri ezenjawulo wamu nokulyowebwa emyoyo olwo kusobola okutukiriza ebyetago byabwe. Obuyambi mu kuddukirira mu byokuziika (singa anaaba afudde) bujja kubafunirwanga singa banabeeranga babwetaaga.


Verilənlər bazası müəlliflik hüququ ilə müdafiə olunur ©anasahife.org 2016
rəhbərliyinə müraciət